1 Kings 2:28-34

28 aAmawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya Mukama, n’akwata ku mayembe g’ekyoto. 29 bBwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya Mukama, era nti ali ku kyoto, n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.”

30 cBenaya n’agenda mu weema ya Mukama, n’agamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye n’addamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya n’azzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu. 31 dAwo kabaka n’alagira Benaya nti, “Kola nga bw’ayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olw’omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga. 32 eEra Mukama alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi. 33Bwe gutyo omusango gw’omusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye ey’obwakabaka, wabeerewo emirembe gya Mukama emirembe gyonna.”

34Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’ayambuka n’atta Yowaabu, n’aziikibwa mu ttaka lye
Abantu baaziikibwanga mu ttaka lyabwe kubanga mu biro ebyo tewaaliwo kifo kya lukale eky’okuziikamu
mu ddungu.
Copyright information for LugEEEE